Okutegeera enkyukakyuka y'ebbeeyi
Ebipimo bya Volatility Indices ebiweebwa Deriv bikolebwa okulaga emitendera egy'enjawulo egy'enkyukakyuka y'ebbeeyi ku katale, ekisobozesa abasuubuzi okukwataganya obukodyo bwabwe n'ekigero ky'akabi kye basobola okugumira. Ebintu bino ebya synthetic bibasobozesa okuteebereza entambula y'ebbeeyi awatali kukosebwa mbeera za butale bwa bulijjo, ekifuula okutegeera enkyukakyuka y'ebbeeyi ekintu ekikulu ennyo okusobola okutuuka ku buwanguzi mu kusuubula. Nga bwe kiri ku nnyanja ebaamu ekiseera eky'obutebenkevu n'eky'omuyaga ogw'amaanyi, n'obutale bwe butyo bukyukakyuka mu ngeri ebbeeyi gye yeenyeenyaamu, ekikosa entambula y'ebbeeyi n'obukodyo bw'okusuubula.
Enkola y'Enkyukakyuka y'Ebbeeyi
Enkyukakyuka y'ebbeeyi kintu kikulu nnyo mu kusuubula ekitegeeza ekigero ebbeeyi y'ekintu ky'ekyukakyukamu mu bbanga eggere. Kikola ng'ekipimo ky'engeri ebbeeyi y'ekintu gy'eyinza okulinnya oba okukka, okufaananako n'engeri ennyanja gy'eyinza okuva ku mayengo amatonotono n'etuuka ku muyaga ogw'amaanyi. Okutegeera enkyukakyuka y'ebbeeyi kuyamba abasuubuzi okuteebereza entambula y'akatale, ne kibasobozesa okukendeeza obulungi akabi.
Bwe muba mulowooza ku ngeri yammwe ey'okusuubula, kikulu nnyo okwekenneenya engeri gye mukwatamu embeera z'akatale ez'enjawulo. Muwulira bulungi okukolera mu mbeera entebenkevu, oba muli beetegefu okwaŋŋanga okusoomoozebwa okuleetebwa enkyukakyuka y'ebbeeyi ey'amaanyi? Ebipimo bya Volatility Indices ebya Deriv bibasobozesa okutereeza engeri gye musuubulamu okusinziira ku kigero ky'akabi kye mwetegefu okugumira, nga mulimu eby'okulondako eby'obukodyo bw'okusuubula obw'obwegendereza n'obw'amaanyi.
Okugeraageranya Ebipimo bya Volatility Indices
Deriv egaba ebipimo bya Volatility Indices ebiwerako, nga buli kimu kikolebwa okulaga emitendera egy'enjawulo egy'okukyukakyuka kw'ebbeeyi. Okugeza, ekipimo kya Volatility 10 kikiikirira embeera y'okusuubula entebenkevu erimu enkyukakyuka y'ebbeeyi entonotono (enkyukakyuka eri mu 10%). Ekipimo kino kisaanira nnyo abasuubuzi abayagala okusuubula mu mbeera etaliimu muyaga mungi. Ku luuyi olulala, ekipimo kya Volatility 100 kirimu enkyukakyuka y'ebbeeyi ey'amaanyi (eri mu 100%), ekiraga enkyukakyuka ennene mu bbeeyi ezisaanira abasuubuzi abeetegefu okugumira akabi akanene okusobola okufuna amagoba amangi.
Ng'oggyeeko bino, waliwo ebipimo ebirala ebirina emitendera gy'enkyukakyuka y'ebbeeyi egy'enjawulo okuva ku 10 okutuuka ku 250%. Okulonda ekipimo kya Volatility Index eky'okusuubulirako kusinziira ku kigero ky'akabi kye mwetegefu okugumira. Bwe muba nga mwagala obutebenkevu n'akabi akatono, olwo ebipimo ebirina enkyukakyuka y'ebbeeyi entono biyinza okubasaanira. Wabula, eri abo abamanyi obulungi okukwata enkyukakyuka z'akatale, okusuubulira ku bipimo ebirina enkyukakyuka y'ebbeeyi ey'amaanyi kuyinza okuleeta amagoba amangi, wadde nga kulimu akabi akanene.
Okufunza
Okutegeera enkola y'enkyukakyuka y'ebbeeyi kikulu nnyo bwe muba musuubulira ku bipimo bya Volatility Indices ebya Deriv. Ka mube nga mwagala kutambulira ku mazzi amateefu oba okwaŋŋanga ennyanja erimu omuyaga, ebipimo bino bibawa obuyinza okutereeza obukodyo bwammwe obw'okusuubula okusinziira ku kigero ky'akabi kye musobola okugumira. Nga mulonda ekipimo ekisaanira, musobola okwongera ku mukisa gwammwe ogw'okufuna amagoba ate nga mukendeeza obulungi akabi. Tubakubiriza okunoonyereza ku bipimo bya Volatility Indices ku Deriv era mubikwataganye n'engeri yammwe ey'okusuubula, mufune obumanyirivu bw'okusuubula obugasa ennyo.
Quiz
Volatility epima ki mu mbeera y'akatale?
Volatility Index ki ekiikirira embeera y'okusuubula enkakkamu okusingawo?
Okukyukakyuka kw'ebbeeyi okw'amaanyi kukosa kutya amagoba n'okufiirwa ebiyinza okubaawo?


