Buuka ogende ku bikulu by'omukutu

Amazima gasobeddwa okubikkulwa: Eby'obulimba 5 ebikwata ku Copy Trading ebisambajjiddwa

5
ddakiika z'okusoma
Entimbe bbiri ez'okusuubula ezaaka nga ziraga ekipande kya candlestick ekifaanagana, ekikiikirira eby'obulimba ebitera okwogerwa ku nkola za Copy Trading.

Bwe muba nga mubadde munoonyereza mu nsi y'okusuubula, kirabika mwawulirako ku Copy Trading. Oboolyawo mrowooza n'okugigezaako. Naye wamu n'okwogerwako ennyo okwo, muyinza okuba nga mwasanga endowooza enkyamu ezibaleetera okubuusabuusa.

Ka tumalewo okutabulwatabulwa okwetoolodde Copy Trading! Bino bye bintu bitaano ebisinga okwogerwa ng'eby'obulimba ku Copy Trading—nga bisambajjiddwa.

‍

Eky'obulimba 1: Copy Trading nkola ya kugaggawala mangu

Amazima: Nedda! Copy Trading si kkubo lya kumpi erituusa ku magoba amakakafu.

Ddala, ebasobozesa okugoberera abasuubuzi abalina obumanyirivu, naye ekyo tekitegeeza buwanguzi bukakafu. Tewali nkola yonna—wadde Copy Trading—esobola kusuubiza magoba ga 100%. Omugaso gwa Copy Trading omutuufu guli mu kuyigira ku bakugu, okugaziya ebintu bye musuubula, n'okulongoosa okusalawo kwammwe mu kusuubula bwe wayita ekiseera.

Ekikulu kye ki? Muteekewo essuubi erituukana n'embeera era mugitwale ng'enkola ey'ekiseera ekiwanvu, so si kkubo lya kumpi ery'okugaggawala mu kiro kimu.

‍

Eky'obulimba 2: Copy Trading teyetaagisa bukugu oba kumanya

Amazima: Wadde nga Copy Trading eyanguya ebintu, si lukusa lwa bwereere olubaleetera okubuuka okuyiga.

Okusobola okukola obulungi, mukyetaaga okumanya ebikulu ebikwata ku kusuubula, okukendeeza akabi, n'okwekenneenya enkola z'okusuubula. Mugitwale ng'enkola y'okuyiga eriko obulagirizi. Mufuna omukisa okulaba engeri abasuubuzi abakugu gye bakolamu ne mukozesa okumanya okwo okusalawo nga mutegeera bulungi.

Okukola kwammwe obulungi tekusinziira ku ani gwe mugoberera kyokka; kusinziira ne ku kutegeera ebikolwa byabwe!

‍

Eky'obulimba 3: Copy Trading eggya obuyinza ku basuubuzi

Amazima: Mu butuufu, mmwe musigala ku nkasi!

Kimu ku birungi ebisinga obunene ebya Copy Trading kwe kuba nti ekyukakyuka okusinziira ku bwe mwagala. Musobola:

  • Okulonda abasuubuzi be mwagala okugoberera.
    ‍
  • Okukyusa enteekateeka zammwe ez'okukendeeza akabi.
    ‍
  • Okuyimirizaamu oba okulekera awo okukoppa essaawa yonna.

Mukyalina obuyinza bwonna. Nkola ya magezi era entegeke obulungi ey'okusuubula.

‍

Eky'obulimba 4: Copy Trading ya bayizi bapya bokka

Amazima: Copy Trading si ya batandisi bokka; n'abasuubuzi abalina obumanyirivu bagikozesa!

N'abasuubuzi abakugu bakozesa Copy Trading okusobola:

  • Okugaziya ebintu bye basuubula.
    ‍
  • Okunoonyereza ku nkola empya.
    ‍
  • Okufuna amagezi okuva ku basuubuzi abalala abakola obulungi.

Ka mube nga mwakayingira mu kusuubula oba nga mulina obumanyirivu bwa myaka mingi, Copy Trading esobola okuba ekikozesebwa eky'omugaso mu by'okusuubula byammwe.

‍

Eky'obulimba 5: Copy Trading yeesigamye ku mukisa gwokka

Amazima: Teyeesigamye ku mukisa. Yeesigamye ku nteekateeka nnungi.

Okukola obulungi mu Copy Trading kuva ku kunoonyereza n'okwekenneenya obulungi. Nga temunnalonda musuubuzi wa kukoppa, musooke mwekenneenye: 

  • Likoodi y'enkola yaabwe
    ‍
  • Engeri gye bakendeezaamu akabi
    ‍
  • Enkola yaabwe ey'okusuubula

Bwe mufuna obudde okwekenneenya ensonga zino, mwongera ku mukisa gwammwe ogw'okusalawo mu ngeri ey'amagezi mu kusuubula.

‍

Eby'obulimba ebikwata ku Copy Trading: Okufunza okw'amangu

Eky'obulimba Amazima
Nkola ya kugaggawala mangu Copy Trading nkola ya kiseera kiwanvu, so si kkubo lya kumpi erituusa ku bugagga.
Teyetaagisa bukugu Mukyetaaga okumanya okusookerwako mu kusuubula okusobola okukola obulungi.
Okufiirwa obuyinza Mmwe musalawo ani gwe mugoberera, ssente z'okusuubula mmeka ze muteekamu, n'ekiseera we muyimiririza.
Ya batandisi bokka N'abasuubuzi abalina obumanyirivu bakozesa Copy Trading okugaziya ebintu bye basuubula.
Mukisa gwokka Okukola obulungi kuva mu kunoonyereza n'okusalawo nga mutegeera bulungi.

‍

Munoonyereze ku Copy Trading ne Deriv cTrader

Deriv ebawa enkola ya Copy Trading ennyangu okukozesa ku Deriv cTrader. Mugigezeeko awatali kabi konna nga mukozesa akawunti ey'okwegezaamu ey'obwereere erimu $10,000 eza virtual. Nnungi nnyo okugezesa enkola yammwe mu mbeera etaliimu kabi.

Olw'okuba eby'obulimba bisambajjiddwa n'amazima ne galagibwa lwatu, kati musobola okukozesa Copy Trading nga mwesiga bulungi. Mwetegefu okutwala eddaala eriddako? Mutandike okunoonyereza mulabe engeri gye kituukana n'olugendo lwammwe olw'okusuubula!

‍

Ebibuuzo ebitera okubuuzibwa

Analyse markets with AI-powered insights

Explore TradersView
WhatsApp