
Vanilla options, era ezimanyiddwa nga “vanillas”, ngeri nnungi nnyo ey'okusuubula mu butale ng'erina ebbeetu mu kusuubula options. Zibawa eddembe (so si buvunaanyizibwa) okugula oba okutunda eky'obugagga ku bbeeyi entereke ng'olunaku olugere terunnatuuka. Kiwulikika ng'ekizibu? Ka tukimenyeemenye mutendera ku mutendera.
Vanilla options zikola zitya?
Okugula vanilla option kiringa okufuna tikiti ey'enkizo eyingira emabega wa siteegi. Musasulira omukisa ogwo naye ne musalawo oba munaagukozesa. Singa omukisa ogwo guba gwa mugaso (akatale ne katambula nga bwe mwagala), musobola okukozesa tikiti yammwe ne munyumirwa emiganyulo. Bwe kitaba bwe kityo, ekisingayo obubi kwe kufiirwa omuwendo gwa tikiti eyo gwokka, so si kirala kyonna.
Ebigambo ebikulu bye mulina okumanya
Nga temunnatandika, bino bye bimu ku bigambo ebikulu bye musaanidde okumanya obulungi:
- Olunaku olukoma (Expiration date): Ekiseera ekisembayo ekya option yammwe. Oluvannyuma lw'olunaku luno, tikiti yammwe (option) eggwaako era tesobola kuddamu kukozesebwa.
- Omuwendo gwa ssente z'okusuubula (Stake amount): Bwe mugula vanilla option, musasula omutemwa ogumanyiddwa nga premium oba omuwendo gwa ssente z'okusuubula eri omutunzi wa option. Premium eno ekola ng'ebisale by'okufuna eddembe endagaano ya option ly'ebawa.
- Call option: Ebasobozesa okugula eky'obugagga ku strike price nga teyinnaggwaako, era nnungi nnyo bwe muba mulowooza nti ebbeeyi zirinnya.
- Put option: Ebasobozesa okutunda eky'obugagga ku strike price nga teyinnaggwaako, era ya mugaso bwe muba mulowooza nti ebbeeyi zigwa.
Ku Deriv, endagaano zino zisasulwa mu ssente ze mufuna mu kifo ky'eky'obugagga kyennyini.
- Omuwendo ogw'omunda (Intrinsic value): Enjawulo eri wakati w'ebbeeyi y'eky'obugagga eriwo kati ne strike price.
- Omuwendo gw'obudde (Time value): Gulaga obudde obusigaddeyo ng'endagaano teyinnaggwaako; obudde obusingawo okuba obungi butera okutegeeza omuwendo ogusingako.
- Strike price: Strike price, era emanyiddwa nga exercise price, eno nsonga nkulu nnyo mu kusuubula options. Ekiikirira ebbeeyi entereke okuva ku ntandikwa alina option kw'asobola okugulira (singa eba call option) oba okutundira (singa eba put option) eky'obugagga ekyo. Strike price eterekebwa ng'endagaano ya option ekolebwa era ekola kinene nnyo mu kusalawo ssente ze mufuna ezisoboka mu option eyo.
Lwaki musuubula vanilla options?
Abasuubuzi baagala nnyo vanilla options kubanga zibawa ebbeetu n'emiganyulo egisoboka. Bwe muti bwe muyinza okuzikozesa:
- Musuubira ebbeeyi y'eky'obugagga okulinnya? Mugule call option okusiba ebbeeyi ey'okugulirako eya wansi. Kino kitegeeza nti ne bwe kiba nti ebbeeyi y'akatale erinnya n'esukka strike price yammwe, musigaza eddembe okugula ku strike price gye mwakkiriziganyaako.

- Mulowooza nti ebbeeyi zigenda kugwa? Mugule put option musobole okutunda ku bbeeyi eya waggulu. Kino kitegeeza nti ne bwe kiba nti ebbeeyi y'akatale egwa wansi wa strike price yammwe, musigaza eddembe okutunda ku strike price gye mwakkiriziganyaako.

Mazima ddala, tewali kusuubula kutaliimu kabi. Newankubadde vanilla options zisobola okuba ezinyuma, kiba kya magezi bulijjo okufuga akabi kammwe n'okusuubula mu ngeri ey'obuvunaanyizibwa.
Mutandike n'obwesige mu kutandika okusuubula
Vanilla options zibawa engeri nnyingi ez'okusuubula, naye ng'ekikozesebwa eky'ebyensimbi ekirala kyonna, zijja n'akabi. Bwe muba nga muli bapya mu kusuubula options, lwaki temutandika na akawunti ey'okwegezaamu ku Deriv? Era musobola okwongera ku bukugu bwammwe n'emisomo egy'obwereere ku Deriv Academy.
Mwetegefu okutandika?
Muyingire mu Deriv Academy nga mukozesa email n'ekigambo ky'ekyama eby'akawunti ya Deriv gye mulina.
Mwegezeemu n'akawunti ey'okwegezaamu era musuubule mu ngeri ey'obuvunaanyizibwa.
Quiz
Ku bigambo bino wammanga ebikwata ku vanilla options, kiruwa ekituufu?


