
Copy Trading ku Deriv Nakala ebikulu mu Copy Trading ekuwa engeri ennyangu ey'okwetaba mu butale bw'ebyensimbi ng'ekukkiriza okukoppa enkola z'abasuubuzi abalina obumanyirivu—abamanyiddwa ng'abagabi b'enkola z'okusuubula. Wabula, okufaananako n'ekika kyonna eky'okusuubula, obuwanguzi businziira ku kusalawo nga mumanyi ekituufu n'okufuga obulungi obuzibu obuliwo okufuga akabi. Okulonda omugabi w'enkola z'okusuubula omutuufu, okwekenneenya omutindo gw'enkola ye, n'okukozesa ebikozesebwa bya Deriv ebiteekeddwawo okufuga akabi bisobola okuleeta enjawulo nnene. Okulambika kuno kujja kubayisa mu byonna bye mwetaaga okumanya okwetegekera obumanyirivu bwa Copy Trading obw'obukuumi era obulimu obuwanguzi.
Okutegeera ebipimo by'omugabi w'enkola z'okusuubula
Nga temunnakoppa ddiiru za kusuubula, kikulu okwekenneenya ebyafaayo by'enkola ya buli mugabi n'engeri gy'asuubulamu. Ku Deriv Nakala, mujja kusangako ebipimo ebijjuvu ebitegekeddwa okuyamba abakozesa okusalawo nga bamanyi ekituufu:
- Ebyafaayo by'amagoba: Mulabe engeri amagoba g'omugabi gye gakyukakyukamu mu bbanga eryayita. Amagoba agatakyukakyuka era agagenda mu maaso emirundi mingi kiba kabonero kalungi.
- Amagoba agafuniddwa: Kiraga ekitundu ku kikumi eky'amagoba oba okufiirwa okuva mu ddiiru z'okusuubula ezaggaddwawo. Kino kiraga omutindo gw'enkola omutuufu era ogwaterekeddwa mu kifo ky'eddiiru ezikyali enzigule.
- Amagoba agaliwo kati: Kikiikirira omutendera gw'amagoba oguliwo mu kiseera kino, omuli eddiiru z'okusuubula enzigule n'ezaggaddwawo—kiyamba mu kwekenneenya okw'amangu.
- Amagoba/Okufiirwa okutannafunibwa (Unrealised P/L): Kiraga amagoba oba okufiirwa okuva mu ddiiru z'okusuubula ezikyali enzigule era ezitannaggwa. Unrealised P/L bw'eba waggulu eyongera ku kabi singa eddiiru ziba zikyukakyuka nnyo.
- Amagoba/Okufiirwa okwafunibwa (Realised P/L): Omuwendo gw'amagoba gonna oba okufiirwa omugabi kw'anywezezza okuva mu ddiiru z'okusuubula ezaggaddwawo. Kino kye kipimo ekikulu eky'obuwanguzi obwa ddala.
- Equity: Omuwendo gw'akawunti y'omugabi mu kiseera ekyo, ng'ogasseeko ssente ezisigaddewo n'amagoba oba okufiirwa okukyukakyuka (floating P/L). Equity egenda esukka wansi eyinza okulaga akabi akeeyongedde.
- Ssente ezisigaddewo: Omuwendo ogusigadde mu akawunti y'omugabi okuva mu ddiiru z'okusuubula ezaggaddwawo zokka. Okugeraageranya ssente ezisigaddewo ne Equity kiyamba okulaga akabi kali mu ddiiru enzigule.
- Okukka okusingayo okwa Leverage (Leverage max drawdown): Kiraga okukka okusingayo obunene mu byafaayo bya Equity ya akawunti ng'ekitundu ku kikumi, nga kiraga akabi n'enkozesa ya Leverage.
- Eddiiru z'okusuubula: Omuwendo gwonna ogw'eddiiru z'okusuubula ezikoleddwa, ogubawa ekifaananyi ky'emirundi omugabi gy'asuubula n'engeri gy'asuubulamu.


Bwe mutegeera era ne mugeraageranya ebipimo bino, mujja kuba mu kifo kirungi okulonda omugabi akwatagana n'omutendera gw'akabi gwe mwagala n'ebiruubirirwa byammwe eby'okusuubula.
Okwekenneenya engeri omugabi w'enkola z'okusuubula gy'asuubulamu
Buli mugabi w'enkola z'okusuubula alina engeri ye ey'enjawulo gy'asuubulamu. Bino bye bintu ebikulu eby'okulowoozaako:
- Ebbanga eggwanvu n'ebbanga ettono: Abagabi abamu essira baliteeka ku ddiiru z'okusuubula ennyingi olunaku (scalping oba day trading), ate abalala baagala nnyo okukuumira eddiiru okumala wiiki oba emyezi.
- Abanoonya akabi n'abegendereza: Abagabi abamalirivu bayinza okunoonya amagoba amangi naye emirundi mingi n'akabi kanene, ate abagabi abegendereza essira baliteeka ku kukuuma entandikwa yaabwe.
- Okukwatagana n'ebiruubirirwa byammwe: Enkola y'omugabi ekwatagana n'obumalirivu bwammwe ku kabi, obunene bwa ssente z'okusuubula, n'ebiruubirirwa byammwe eby'ebyensimbi? Mujjukire nti, ekikolera omukozesa omu kiyinza obutagasa mulala.
Okwekenneenya akabi n'okugabanyaamu mu Copy Trading
Ekimu ku bikulu ebireeta obuwanguzi mu Copy Trading kwe kufuga akabi. Wadde nga si mmwe muteekawo eddiiru z'okusuubula n'emikono gyammwe, waliwo emitendera gye musobola okutwala okufuga obuzibu obukwatagana n'okusuubula. Enkola ennungi ntono ze zino:
- Mugabanye ensimbi mu bagabi ab'enjawulo: Okugabanyaamu kukendeeza ku kabi k'okukosebwa olw'omutindo omubi okuva ku mugabi omu yekka.
- Muteekewo ekkomo ku kukoppa ne Stop Loss: Deriv Nakala ebakkkiriza okulambika omuwendo gwa ssente gwe mwetegefu okuteeka mu kusuubula na buli mugabi. Musobola okulonda oba mwagala okuba n'obunene bw'eddiiru obutakyuka, okukoppa obunene bw'eddiiru z'omugabi omukulu (master size) oba eddiiru zammwe okuteekebwawo okusinziira ku Equity yammwe. Era musobola okuteekawo ekkomo ly'okukka ery'amangu (soft drawdown limit) n'ery'enkomeredde (hard drawdown limits) okuziyiza akawunti yammwe okukoppa eddiiru empya (soft drawdown limit) oba okuggalawo eddiiru zonna (hard drawdown limits) okukendeeza ku kabi.
- Mulondoole enneeyisa y'omugabi: Enkyukakyuka ez'amangu—ng'okukka okunene oba eddiiru ezikozesa Leverage ennyingi—ziyinza okulaga akabi akeeyongedde.
- Okukebera omutindo gw'enkola buli kiseera: Muteekewo obudde okwekenneenya ebivuddemu n'okutereeza obunene bw'okusuubula kwammwe nga bwe kyetaagisa.
Enkola ennungi eri abasuubuzi abapya aba Copy Trading
- Mutandike na kitono, mugende nga mweyongera mpola: Mutandike n'omuwendo mutono era mwongere ku ssente z'okusuubula oluvannyuma lw'okumatira n'omutindo gw'enkola y'omugabi.
- Okuyiga okutasalako: Obutale bukyukakyuka—mubeere nga mumanyi ebifaayo era mutereeze enkola yammwe buli kiseera.
- Mubeere bulindaala: Wadde nga mulina ebikozesebwa ebifuga akabi, tewali nkola gy'oteekawo n'ogireka awo; okulondoola obutasalako kusigala nga kukulu nnyo.
Okulonda omugabi w'enkola z'okusuubula omutuufu n'okufuga obulungi akabi kammwe ku Deriv Nakala mitendera mikulu mu kuzimba olugendo lwa Copy Trading olulimu obuwanguzi. Bwe mutwala obudde okwekenneenya ebipimo by'abagabi, okwekenneenya engeri gye basuubulamu, n'okukozesa ebikozesebwa by'omukutu ebifuga akabi, mujja kwetegekera obumanyirivu obw'obukuumi era obugasa. Mujjukire nti, obuwanguzi obutakyukakyuka mu Copy Trading bufunibwa na kubeera nga mumanyi ebifaayo, okugabanyaamu n'amagezi, n'okwekenneenya enkola zammwe buli kiseera. Ng'omaze okuteekateeka obulungi n'okubeera obulindaala buli kiseera, musobola okuganyulwa mu mikisa Deriv Nakala gy'ebawa.
Quiz
Mutendera ki ogumu omukulu bwe muba mulonda agaba obukodyo bw'okusuubula ku Deriv Nakala?


