
Mwali muwuliddeko ng'abasuubuzi abamu bulijjo balabika ng'ababeera mu kifo ekituufu mu budde obutuufu? Ekyama si ddogo. Kiri mu kusuubula nga mugoberera entambula y'akatale (trend trading). Mu kifo ky'okutebeereza entikko n'entobo z'akatale, abasuubuzi abagoberera entambula y'akatale batambulira ku kwetegereza okw'ekikugu (technical analysis), ne bagoberera amaanyi g'akatale mu ludda gye kabeera kadda. Mukifaananye ng'okuseeyeeya ku mayengo g'ennyanja: temulwanyisa jjengo; mulyebagalira bwebagalizi!
Abasuubuzi ba forex baagala nnyo entambula y'akatale kubanga emigogo gy'ensimbi gitera okutambula mu ludda lumu n'amaanyi okumala ekiseera, nga gisindikibwa emiwendo gy'amagoba n'amawulire g'eby'enfuna. Ate era, forex katale akanguyirwa ennyo okukyusa ensimbi, ekifuula ekyangu okuyingira n'okuva mu mirimu gy'okusuubula awatali buzibu.
Okuzuula entambula y'akatale nga mukozesa moving averages
Mu bulambulukufu, entambula y'akatale (trend) y'engeri akatale gye kagambamu nti, “Kale, ndaga eno!” Bwe zityo bwe zaawulwamu:
- Entambula eyambuka (Uptrend): Omuzannyo gw'entikko ezirinnya n'entobo ezirinnya (akatale kabeera kalinnya)
- Entambula ekka (Downtrend): Omuzannyo gw'entikko ezikka n'entobo ezikka (akatale kabeera kakka)
- Entambula ey'omu mbiriizi (Sideways trend): Ebbeeyi etambulira mu kigero eky'ekyenkanyi (akatale kabeera ng'akawummuddeko)

Naye twogere amazima. Obutale buyinza obutateeberezeka. Moving averages zibayamba okwawula ebituufu mu kavuyo k'ebbeeyi.
Moving averages: Amaanyi gammwe ag'enjawulo mu kulondoola entambula y'akatale
Moving averages zigolola okulinnya n'okukka kw'akatale, ne zifuula entambula y'akatale ennyangu okuzuula. Ebika ebibiri ebisinga ettutumu bye bino:
- Simple Moving Average (SMA): Ekigero ky'ebbeeyi eky'awamu ekya bulijjo mu kiseera ekigere. Ebeera nnywevu naye ng'asooba katono okwanukula enkyukakyuka mu bbeeyi—mugifaananye ng'enfudu mu mpaka z'embiro.
- Exponential Moving Average (EMA): Ewa obuzito bungi ebbeeyi ez'akakubirire, n'olwekyo eyanukula mangu, kumpi ng'omuddusi w'embiro ennyimpi.

Okulonda ekiseera ekituufu kisinziira ku ngeri gye musuubulamu:
- Entambula ez'ekiseera ekitono: 20-period moving average
- Entambula ez'ekiseera eky'amakkati: 50-period moving average
- Entambula ez'ekiseera ekiwanvu: 200-period moving average
Okuzuula enkyukakyuka mu ntambula y'akatale: Moving average crossovers
Mwali mwagalizzaako okuba n'endabirwamu eragula enkyukakyuka mu ntambula y'akatale? Moving average crossovers ziyinza okubayamba! Bino bye bibiri ebikulu bye mulina okwetegereza:
- Golden cross: Moving average ey'ekiseera ekitono esala waggulu w'eyo ey'ekiseera ekiwanvu. Kiringa akatale akabakwenyera nti entambula eyambuka eyinza okuba ng'etandika.
- Death cross: Ekikontana nakyo. Moving average ey'ekiseera ekitono esala wansi w'eyo ey'ekiseera ekiwanvu. Tekitiisa nga bwe kiwulikika, naye kiyinza okutegeeza nti entambula ekka eri mu kkubo.

Obubonero buno bukola bulungi nnyo bwe bugattibwa ku bintu ebirala, ng'ebigero ebikulu ebya support ne resistance oba ebiseera by'okusuubula ebibeeramu abasuubuzi abangi.
Okutuukana n'embeera z'akatale ng'omukugu
Obutale bwa forex bufaananako katono ng'embeera y'obudde. Oluusi bubeera buteefu, oluusi bubeeramu omuyaga. Engeri y'okukyusaamu okutuukana nabwo y'eno:
- Ebiseera by'okusuubula eby'okujjula (London ne New York we zisissinkanira): Entambula z'akatale zitera okuba ez'amaanyi.
- Ebiseera ebisirifu (ekiseera kya Asia ku migogo gy'ensimbi egimu): Entambula ey'omu mbiriizi y'esinga okulabika.
- Ebikwata ku mawulire: Musuubire enkyukakyuka z'ebbeeyi ez'amangu! Spreads ziyinza okugaziwa, n'olwekyo mulowooze ku kukendeeza obunene bw'emirimu gyammwe gy'okusuubula.
Okufuga akabi: Okukuuma akawunti yammwe ng'eri mu mirembe
N'abasuubuzi abasinga obukugu bafuna emirimu gy'okusuubula egifiirwa. Ekikulu kiri mu kufuga kabi. Kino kye mulina okukola:
- Okugera obunene bw'omulimu (Position sizing): Temuteeka mu kabi kusukka 1–2% ku nsimbi zammwe ez'okusuubula mu mulimu gumu.
- Stop Loss: Mukozese ebiragiro bya Stop Loss katono ebweru w'ebitundu bya support/resistance okukuuma omulimu gwammwe.
- Ekigero ky'akabi ku magoba (Risk-reward ratio): Muluubirire wakiri 1:2, ekitegeeza nti muluubirira okufuna emirundi ebiri ekyo kye muteeka mu kabi.
- Mwetegereze enkwatagana (correlations): Emigogo gy'ensimbi egimu gitambula wamu. Okusuubula emigogo egikwatagana ennyo kiyinza okukubisaamu akabi kammwe emirundi ebiri nga temukitegedde!
Mwagala okwongera obukugu mu kuzuula entambula z'akatale? Engeri esinga obulungi kwe kwegezaamu. Akawunti ey'okwegezaamu (demo account) ebasobozesa okugezesa moving averages mu mbeera z'akatale ez'addala awatali kuteeka ssente za ddala mu kabi. N'obugumiikiriza wamu n'enteekateeka ennywevu, mujja kukikugukamu.
Mwagala okweyongerayo waggulu n'okusingawo? Mukyalire emisomo gy'oku mutimbagano egy'obwereere egya Deriv Academy. Muyingire buyingizi ne email ya akawunti yammwe eya Deriv wamu ne password okutandika okuyiga leero.
Quiz
Akabonero ka golden cross kalaga ki?


