
Okusuubula Volatility Indices kuyinza okuwulikika ng'okwebagala akagaali k'amasanyu akawugula—kunyuma, tekuteeberezeka, era oluusi kuleeta okutya. Eyo ye nsonga lwaki okubeera n'enteekateeka ennywevu eya obukodyo bw'okusuubula kikulu nnyo. Ebiragiro bya Stop Loss (SL) ne Take Profit (TP) bibayamba okusigala nga mufuga embeera nga mussaawo ebifo ebyenkukunala mwe muvira mu misuubulo gyammwe, akatale k'abeere nga kabagendera bulungi oba nedda.
Ebiragiro bya Stop Loss ne Take Profit bye biruwa?
Mubeere nga abateebereza nti musuubula Volatility Index. Muyinza okutuula awo nga mutunuulira buli nkyukakyuka ya bbeeyi nga musuubira ebirungi, naye eyo ngeri ya kusuubula ereeta okweraliikirira (era erimu akabi). Wabula, ebiragiro bya SL ne TP bibakolera omulimu omunene nga binyweza amagoba n'okukendeeza okufiirwa mu ngeri eyeekola yokka:
- Take Profit (TP): Kino kye kiruubirirwa ky'amagoba gammwe. Mulonda ebbeeyi kwe mwandisanyukidde okufulumiza ssente zammwe, era akatale bwe katuuka ku ddaala eryo, omusuubulo gwammwe gweggalawo ne gukakasa amagoba gammwe.
- Stop Loss (SL): Buno bwe bukuumi bwammwe. Mussaako ebbeeyi nga, akatale bwe kabakyukira, omusuubulo gwammwe gweggalawo gwokka okusobola okukendeeza ku kufiirwa kwammwe.
Ka tukannyonnyole n'ekyokulabirako. Tugambe nti mugula Volatility 50 ku $271 ne mussaawo TP ku $280. Akatale bwe katuuka ku $280, omusuubulo gwammwe gweggalawo ne gubakakasa amagoba ga $9. Mu kiseera kye kimu, bwe mussaawo SL ku $266, omusuubulo gwammwe gujja kweggalira awo, okufiirwa kwammwe kusigale ku $5 zokka.

Okufuna ekigero ekituufu: Ekigero ky'akabi n'amagoba (risk-reward ratio)
Okussaawo SL ne TP zammwe mu ngeri ey'amagezi, abasuubuzi bakozesa ekigero ky'akabi n'amagoba. Enkola eno nnyangu naye nga ya maanyi nnyo:
Ekigero ky'akabi n'amagoba = Amagoba agasuubirwa / Okufiirwa okusuubirwa
Mu kyokulabirako kyaffe:
- Amagoba agasuubirwa = $9
- Okufiirwa okusuubirwa = $5
- Ekigero ky'akabi n'amagoba = 1.8 (ku buli $1 gye mussa mu kabi, muyinza okufunamu $1.80)
Ekigero ky'akabi n'amagoba eky'awaggulu kiyinza okutegeeza amagoba amanene agasuubirwa, naye ekikulu kwe kufuna ekigero ekituufu okusinziira ku mbeera y'akatale n'obumalirivu bwammwe okugumira akabi.
Lwaki ebiragiro bya SL ne TP bikulu
Okukozesa ebiragiro byombi ebya SL ne TP si kuteebereza buteebereza mu misuubulo. Kwe kusalawo mu ngeri ey'amagezi era entegeke obulungi okukuuma ssente zammwe n'okwongera ku magoba ge mufuna.
Mwetegefu okugezesa obukodyo bwammwe? Mwegezeseemu awatali kabi konna nga mukozesa akawunti ey'okwegezesaamu (demo account) mulabe bwe musobola okwang'anga enkyukakyuka z'akatale.
Quiz
Kiki ekibaawo nga ekiragiro kyammwe ekya Stop Loss kitandise okukola?


